Kishore Kumar Hits

Bobi Wine - Tuliyambala Engule lyrics

Artist: Bobi Wine

album: Tuliyambala Engule


Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule,
Tuliyambala engule,
Tuliyambala engule,
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya.
Neva, neva and neva again
Shall it be
That this beautiful nation
Will again experience
The oppression
Of one
By another
And bear the indignity
Of being the scum of the world
Yaga yaga yaga yaga ohh
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tuliyambala engule
Tuliyambala engule
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya.
(Tuliyambla)
Tuliyambala(tuliyambala)
Tuliyambala
Engule zimasamasa
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya
(Obusosoze)
Obusosoze nga buwedde
Tuliyambala engule
Ne nguzi nga ewedde
Tuliyambala engule
Ne'kibba ttaka nga kiwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya.
(Tear gas)
Tear gas ng'awedde
Tuliyamabala engule
Obwa nakyemalira nga buwedde tuliyambla engule
Obukenuzi nga bugenze
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya.
Tuliyambala ×5
Engul'ezimasamasa
(Ezimasamasa)
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya.
Obuyinza mu mikono jy'abantu
Eyo y'ensi ensuubize
Tuliba nga tebakyatufugisa mmundu
Mu nsi ensuubize
Muggwanga ery'amazima
N'obwenkanya
Eyo y'ensi ensuubize
Tulinyumira Uganda eno
Kale nno ffuna endaga muntu
Osobole okwebereramu
N'okukyusa ebikunyiga
Ago amanyi tugalina
Era
People power ng'ewangudde
Tuliyambala engule
Tulinyumirwa Uganda empya
(...)

Omusolo nga gukeendedde
Tuliyambala engule
Abalimi nga bafunye akatale tuliyambala engule
Nga munsi yo olina eddembe tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya.
Amalwaliro nga gateredde
Tuliyambala engule
Nga tetukyafa nga tuzaala
Tuliyambala engule
Nga buli kikyamu kiteredde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya.
Mukozese mirembe temurwana tuliyambala engule

Mwenna muli baana ba Ruhanga tuliyambala engule
Banauganda tuli baluganda
Tuliyambala engule
Tulinyumirwa Uganda eyooo
Tuliyambala ×4 engule zimasasa (ezimasamasa)

Olutalo nga luwedde
Tuliyambla engule
Tulivimba mu Uganda empya.

Поcмотреть все песни артиста

Other albums by the artist

Similar artists