Kishore Kumar Hits

Bobi Wine - Obululu lyrics

Artist: Bobi Wine

album: Kyarenga


Serious matter dis
A dedication to all dem leaders
And the voters
Sensitization to avoid a bloody situation
Inna dis lovely nation
Listen to the edutainment
Dis a serious matter
Fi daughter, son and father and mother
A serious matter
Fi all citizen, leader and voter
Well then
Wabula I don't know
What is wrong with my people
Kuba entalo zisusse!
Especially mu kiseera nga kino
Ekirimu okulonda obukyayi busukka!
That's why nakubye kano akayimba kabasomese
Nti empalana z'ebyokulonda zaadiba
N'obutawagira kw'omu tebuba bulabe
Olwo eggwanga lwe lijja okula
Sso, bwe kuba kulonda tugende tulonde naye
Obululu tebutwawula
Tuve mu kuyomba olw'abo abeesimbawo
Obululu tebutwawula
Ffe, tuba tuyombagana nga bo bassa kimu
Obululu tebutwawula
Eby'okulonda biggwa naye ate ffe tusigalawo
Obululu tebutwawula
Wano Kabaya yakuba mukazi we katono amutuge
Naye nga byava ku kampeyini za ba kkansala
Mukwano gwa Kabaya yeesimbawo
Naye nga ne mukazi we naye awagira mulala
Kabaya olwakimanya, n'acankalana
Okumaliriza nga beekutte beekubye
Ono kwata oluyi, nze Kabaya ndeka
Era Landlord y'eyabataasa, wulira!
Ku mirimu abakozi bayisibwa bubi
Bw'aba tawagira muntu omu ne boss we
Ku kyalo okulonda olubalukawo
Famire zikutukamu n'owulira enjawukana
Bangi twabalabako nga baali ba mukwano
Kati ne bwe beesisinkana tebebbongako
Jjukira eby'e Kenya ku Kibaki ne Odinga
Wano saagala biraba
Kati bwe kuba kulonda tugende tulonde naye
Obululu tebutwawula
Tuve mu kuyomba olw'abo abeesimbawo
Obululu tebutwawula
Ffe, tuba tuyombagana nga bo bassa kimu
Obululu tebutwawula
Eby'okulonda biggwa naye ate ffe tusigalawo
Obululu tebutwawula
Well democracy is all we ever wanted
So we must never take it for granted
Remember, election violence
Is a symbol of backwardness
Dis a serious matter
Fi daughter, son and father and mother
A serious matter
Fi all citizen, leader and voter
Watch this!
Kati eno verse ka ngiweereze abakulembeze
Ngiweereze ne kw'abo abeesimbawo
Bwoba wasalawo ne weesimbawo
Kitegeeza olina ku magezi agatusingako
Todda ku katuuti kuvuma b'ovuganya
Wabula tutabbire, tumatire tusalewo
Jjukira bye mukola naffe bye tukola
Mmwe bwe muneneŋana
Eno muliro gwe mukuma
Kikugasa ki nga gwe omuliro ogukumye?
Ate n'oleka nga ffe abalonzi tuttiŋana?
Twagala Uganda yaffe mmwe mugikuze
Nga mutugatta temutwawula
Sso, bwe kuba kulonda tugende tulonde naye
Obululu tebutwawula
Tuve mu kuyomba olw'abo abeesimbawo
Obululu tebutwawula
Ffe, tuba tuyombagana nga bo bassa kimu
Obululu tebutwawula
Eby'okulonda biggwa naye ate ffe tusigalawo
Obululu tebutwawula
Nze deemu wange awagira mulala
Ate nange mpagira mulala
Obululu tebutwawula
Naye ate bwe bituuka mu maka
Obululu budda ku bbali
Obululu tebutwawula
Ne taata wange awagira mulala
Ne maama awagira mulala
Obululu tebutwawula
Naye ate bwe bituuka mu maka
Obululu budda ku bbali
Obululu tebutwawula
Mukwano gwange awagira mulala
Ate nange mpagira mulala
Obululu tebutwawula
Baasi!!!

Поcмотреть все песни артиста

Other albums by the artist

Similar artists