Kishore Kumar Hits

Elly Wamala Official - May Tontunulila lyrics

Artist: Elly Wamala Official

album: May Tontunulila


Oh maama
Maama nze
Oh maama
Maama nze
Mukutunulootyo olinzisa may
Buli wendaga may noolondoola nze
Nze nina owange
Mutono muwanvu
Buli lwava wendi
Bambi sitereera
Olwo gwe may
Nkunonozeeko ki
Mala galeka may teri magezi
Gwe nalondawo edda muleke ankuume
Nze nina owange
Mutono muwanvu
Buli lwava wendi
Bambi sitereera
Olwo ate gwe may
Nkunonozeeko ki
Mala galeka may teri magezi
Gwe nalondawo edda muleke ankuume
Bwenakulirana mu sinema juuzi
Walekerera sinema n'otunula eri nze
Mu kibululu omwo
Ng'otunuulidde nze
Nga nze simanyiko nti oba ndiko anondoola
Ekyanyamba
Nkimanye nti oli awo
Etaala bweyamyansa eti nenkulaba amaaso
Ate n'ogankweka olw'ensonyi ennyingi
Ye
Mu kibululu omwo
Ng'otunuulidde nze
Nga nze simanyiko nti oba ndiko anondoola
Wabula ekyanyamba
Nkimanye nti oli awo
Etaala bweyamyansa eti nenkulaba amaaso
Olwo gwe n'ogankweka olw'ensonyi ennyingi
Uhm ddala
Sikuwaayiriza
Ndi mu ya mitwalo ya sente nyingi
Mwenkyakalira bambi era mwensiiba
Bampolampole nze
Mazima ya bbanja
Luliba lumu no
Sente zirikeewa
Olwo gwe may
Mazima ng'obuuse
Nsisimuke enkya ng'obuuse ogenze
Nsisimuke enkya ng'obuuse ogenze
Nsisimuke enkya ng'obuuse ogenze
Nsisimuke enkya ng'obuuse ogenze
Nsisimuke enkya ng'obuuse ogenze
Nsisimuke enkya ng'obuuse ogenze
Nsisimuke enkya ng'obuuse
End

Поcмотреть все песни артиста

Other albums by the artist

Similar artists